Ebyobulamu

Ekyuuma ekirongoosa amazzi kizze

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

Clean water.jpg1

Kampala Capital city authority efunye kkampuni egenda okutunda amazzi g’okunywa amalongoose

Atwala eby’amazzi mu KCCA Joel Mwesigye, agamba nti kkampuni emanyiddwa nga  Water Purification Systems Ltd y’ewereddwa omulimu guno

Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutongoza amazzi gano, Mwesigye agambye nti kino bakikoze okulwanyisa obulwadde bwa Typhoid obwefunyiridde bannakampala olw’amazzi agasinga okubaamu empita mbi

Yye akulira kkampuni eno Rolf Mueller agamba nti bakozesezza obukadde bwa doola emitwalo 10 okugula ekyuma ky’omulembe ekigenda okulongoosa amazzi olwo bagasuubuze abagatunda mu bucupa

Mullera agamba nti buli kidomola kyakugula shs 150

Wabula abasuubuzi abamu bategeezezza nga zino bweziri waggulu ennyo kubanga abasinga bakola shs 3000 olunaku.

Wabula yye ssentebe w’abasuubuzi Godfrey Kayongo agambye nti keekadde abasuubuzi bakulembeze obulamu bw’abantu kubanga amazzi gebabadde batunda gabadde makyafu ate nga tebagafumba

KCCA yawera amazzi g’emidumu mu kibuga ng’agamba nti amazzi galimu empitambi era kyekireese obulwadde bwa Typhoid ne Kkolera