Ebyobulamu
Embeera mbi mu malwaliro
Embeera y’amalwaliro mu ggwanga ekyayungula amaziga
Ababaka ba palamenti abali mu kulambula amalwaliro bakizudde nti mangi tegalina ddagala
Awamu teliiyo mpiso n’obukozesebwa okusaako abantu omusaayi oba amazzi
Kino kirabiddwaako e Mukono ne Jjinja
Ate yyo e jjinja kiri bubi nnyo nga n’ekyuuma ekitereka ebikyaafu kyaafa dda.
Ekyuuma kino kiterekebwaamu ebikyaafu ebibeera mu ddwaliro era nga kati ekisu kyekikwaniriza
Ekifo kino kikozesebwa amalwaliro gonna mu district ye Jjinja, Iganga ne Kamuli
Akola ku kyuuma kino Newton Chepteok agambye nti ensonga eno bagitegeezaako dda minisitule naye nga tewali kikolebwa