Ebyobulamu
Embeera mu Nkambi yakukyuuka
Oluvanyuma lw’embeera y’eby’obulamu okwongera okugotaana mu nkambi z’abanonyi b’obubudamu minisitule ekola ku nsonga z’ababundabunda etaddewo akakiiko akalondoola ebyobulamu mu nkambi zino okulaba nga tewabalukawo ndwadde zonna ziva ku bukyafu.
Minisita akola ku bigwa bitalaze Musa Echweru agamba obukiiko buno bugenda kukwatagana butereevu ne minisitule y’ebyobulamu okusalira embeera y’eby’obulamu amagezi nga basomesa abanonyi b’obubudamu engeri y’okwekuumamu nga bayonjo.
Echweru agamba bano baakutalaaga enkambi ez’enjawulo okulaba nga buli nkambi mulimu kabuyonjo ezimala era nga zikozesebwa bulungi.
Essira okusinga liteereddwa ku nkambi ya Awulo mu disitulikiti ye Adjumani, n’endala mu disitulikiti ye Koboko.