Ebyobulamu
Embuto zisobola obutavaamu
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti ensonga ezivaako embuto okuvaamu zisobola okwewalibwa
Abanonyereza bagamba nti ekisinga okuvaako embuto okuvaamu naddala mu mawanga agakula edda , mugejjo okuva ku kulya enyo ate ng’ebiriibwa birimu amasavu mangi.
Mu ngeri yeemu era abakyala abanywa omwenge n’okukola ennyo naddala mu biseera by’ekiro nabo bali mu bulabe obw’okuvaamu embuto.
Ate kino kibaawo nnyo ku bakyala abali mu myaka 30 nga bano beetaga okuwummula ekimala n’okulya ebituufu
Okunonyereza kuno kutunuulidde abakyala emitwalo mwenda mu ggwanga lya Denmark