Ebyobulamu
emitwalo 70 balina siriimu naye tebakiriza
Kizuuliddwa nga bannayuganda abasoba mu mitwalo 70 bwebawangaala ne siriimu naye nga tebakimanyi sso nga abalala tebaagala kukkiriza.
Akulira ekibiina ekigabi ky’obuyambi ekya UNAIDS Musa Bungudu agamba abamu bagwa ne ku ndiri wabula nebagaana okukkiriza nti balwadde nga era kino kiviiriddeko obulwadde bwa siriimu okusaasanira ku misinde.
Bungudu agamba ensonga eno ekalubizza olutalo lw’okulwanyisa siriimu mu ggwanga.
Bungudu agamba yadde nga abantu abamanyikiddwa nti balina siriimu bajanjabibwa, kujja kuba kumala budde nga bano abasoba mu mitwalo 70 tebajanjabiddwa.