Ebyobulamu
Emmere ku ssomero yakuwerebwa
Abasomesa mu bungereza basabiddwa okuwera emmere abaana gyebajja nayo okuva ewaka okuliira ku masomero.
Ministry yebyenjigiriza mu ggwanga etegeezezza nga eyambibwako abakugu mu byendya bagamba emmere abayizi bano gyebasinga kuleeta tebaamu kiriisa kimala era nga ebamu ebitundu 43%.
Abakugu bano bagamba abaana basinga kuleeta bumpwanchi mpwanchi mukifo kyokulya emere enfumbe ezimba emibiri.
Wano nno webaabidde namasomero okusala ku sente zekyemisana kubanga abaana abasinga bakola kino lwabutaba nansimbi zisasula yakusomero enfumbe.