Ebyobulamu
Empeke ezikaawa bigenda
Ekitongole ekikola ku by’eddagala mu ggwanga kikakasizza abawangaala n’akawuka ka mukenenya nti empeke ezikaawa bakuziwona akadde konna
Kiddiridde abantu bano okwemulugunya ku bika by’empeke zino bibiri nga bino bikaawa okukira omususa
Akulira ekitongole kino Gordon Ssematiko agamba nti baakoma okuyingiza eddagala lino mu mwaka oguwedde ng’ezirimu zeezisemba
Sematiko akikkatiriza nti empeke eziriko akabubi ka sukaali ziri ku katale nga waliwo abazikozesa era nga zakubuna mpolampola