Ebyobulamu
Empeke za siriimu ezikaaya zitulemesa- abalina siriimu
Minisitule ekola ku byobulamu esuubizza okufuan eky’okuddamu eri empeke eziweweeza ku bulwadde bwa Mukenenya ezikaawa
Abantu abakozesa eddagala lino bangi beemulugunya nti emu ku empeke zebamira zikaawa ekivaako bangi obutagimira
Kati Minisita w’ebyobulamu Dr Rukahana Rugunda agamba nti ensonga eno yabatuukako era tebatudde bayiiya eky’okukola
Empeke zoogerwaako kuliko tenofovir ne lamivudine nga zino teziseerebwa kyokka nga zikaawa okukira omususa
Empeke zino zombi ezikozesebwa nnyo mu mawanga agakyaakula
Kati akulira ekibiina ekigatta abalina ekirwadde kya Mukenenya Margret Happy agamba nti ekibewunyisa kwekulaba nti abaleeta kuno eddagala lya mukenenya ssibeebatuusa empeke zino kale nga beewunya lwaki ate zibaweebwa
Margaret Happy agamba nti bamaze okwebuuza ku mmapuni ya Hetero Labs Limited etuusa eddagala mu Uganda ku mpeke zino kyokka nga nabo bazeeganye