Ebyobulamu
Empeke z’otulo ziwussa
Omuntu buli lw’amira ennyo amakerenda g’otulo aba yessa mu bulabe bw’okuwutta
Okuzuula bino abanonyereza batunuulidde abantu abawera mu ggwanga lya Canada nga bano baali bakozesa nnyo amakerenda gano okufuna otulo
Kigambibwa okuba nti ku buli bantu 100 abamira empeke zino, abaweza ebitundu 51 ku kikumi bawutta
Abasawo bakomekkerezza nga bagamba nti mu bulamu, omuntu yandewaze okumira amakerenda kano nga tannayisaawo ssabbiiti 12 ngamaze okumira azisoose.