Ebyobulamu
Endya y’abaana entuufu
Abakola ku by’endya mu ddwaliro e Mulago bagaala nsimbi ezinabayamba okusomesa abakyala ku ndya entuufu ey’abaana
Omusawo omukugu mu byendiisa, Florence Nalubowa agamba nti balina bingi byebamanyi ku ndya entuufu nate nga tebalina busobozi butuuka mu bazadde abeetaaga amawulire gano
Nalubowa agamba nti kino kikosezza nnyo abaana olw’endwadde ezitaggwa
Abaana emitwaalo 36 n’ekitundu beebakonzibye olw’endya embi mu Uganda.