Ebyobulamu
Enkola empya ezze
Ministry yebyobulamu ezze nenkola empya gyeegamba nti yaakudaabulula ekisaawe kyebyobulamu mu ggwanga.
Mu kino baagala ensimbi zonna eziweeba yo eri ebyobulamu zigabanyizibwenga kyenkanyi eri enddwadde nebizibu mu byobulamu mu ggwanga.
Mukino baagala ensimbi zonna zisookenga kukunganyizibwa wamu noluvanyuma zigabanyizibwe okwetolola eggwanga okusobola okukola ku bizibu byonna.
Avunanyizibwa kukuteekeratekera ministry eno Dr Isaac Ezate agamba bakizudde nga ministry yebyobulamu bwefuna ensimbi enfafa wabula engabanya ekyaalimu obuzibu bunji.
Agamba kawefube wokulwanyia enddwadde omu afuna obuyambi bunji nyo olwo ebirala nebisigalira emabega kyagamba ntu kikyaamu.
Enteekateeka eno kati erinze kukakasibwa palamanti.