Ebyobulamu

Ensimbi obukadde 2 zaabuzibwaawo

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku nsimbi z’omuwi w’omusolo kakunyizza abakulu okuva mu minisitule y’ebyobulamu ku nsimbi eziweza obuwumbi 2 ezaawebwa abasawo ng’ensako.

Okusinziira ku alipoota okuva eri ssababazi w’ebitabo bya gavumenti, ensimbi zino zaweebwa abasawo kyokka nezitassibwa mu mbalirira yaabwe

Ng’alabiseeko mu kakiiko kano, omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago agambye nti ensobi eyakolebwa bwebutalaga ensimbi ngeri gyezakozesebwaamu

Anyonyodde nti zino zakozesebwa mu kusasula abasawo abakola ku balwadde mu biseera obulwadde bwa Ebola, Marburg n’ebirala bwebyalumbira eggwanga.