Ebyobulamu
Envunza zibali bubi
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga esabiddwa okuyingira mu lutalo ku nvunza mu disitulikiti ye Namutumba.
Kigambibwa okuba ng’abantu abasoba mu 10 beebatwalibwa mu ddwaliro lye Nsinze health center 4 ng’obuzibu nvunza.
Omubaka omukyala owe Namutumba Florence Mutyabule agamba nti abasinze okukosebwa baana okuva mu maka amaavu ow’obujama
Mutyabule agamba nti beetaaga kawefube agendereddwaamu okusomesa abantu ku ngeri y’okulwanyisaamu envunza kubanga kati kizibu ddala.