Ebyobulamu

Enyama namata ebimu biirmu edagala

Enyama namata ebimu biirmu edagala

Ivan Ssenabulya

February 27th, 2019

No comments

Bya Nobert Atukunda

Abasawo bebisolo mu kibiina kya Uganda Veterinary Association balabudde ku mata ne nnyama byebalya ensangi zino, nti mwandibaamu ebiragalala ebisusse, atnega byabulabe eri obulamu bwabantu.

Presidenti wekibiina kino Sylvia Baluka, agamba nti abalunzi abamu batunda ebisolo nebigenda ku katale, okulibwa atenga bibadde ku bujanjabi, nga bewala okukolera mu kufiirwa.

Wabula agambye nti waliwo okusomozebwa, kubanga tewali byuma ebyomulembe ebiyinza okulaba ebidala aebiba bikyali mu mibiri gyebisolo.

Kati akulira ebybisolo mu district ye Buyende, George Otebero agamba nti ebirwadde mu banatu, 75% biva ku bisolo, nomulanga ministry yebyobulimi nobulunzi, okukola ekyamangu okumalalwo embeera eno.