Ebyobulamu
Enyindo emeze mu kyenyi
Omusajja eyagongobala enyindo ng’agudde ku kabenje agenda kussibwaako endala.
Xiaolian, 22, akabenje yakafuna mu mwaka gwa 2012
Abasawo bagezaako okulongoosa enyindo naye nebalemererwa era bwebatyo basalawo okumusalako obunyama bwebagattagatta nebabumuteeka mu kyenyi olwo nebakubamu eddagala era ng’okuva olwo bubadde bumera
Omusajja ono obuyamba buno bumuviiriddemu enyindo yenyini ng’abasawo bagamba nti kati bagenda kumusalako enkadde eyefunyafunya bamusseeko empa
Abasawo mu ggwanga lya China ono gy’ava bagamba nti buli kimu kiri bulungi era nga bakakafu nti ebintu byakutambula bukwakku