Ebyobulamu
Enzizi eziri mu kibuga ziggaddwa
Gavumenti yakuggala ebifo byonna ebivaamu amazzi mu kibuga kubanga kizuuliddwa nti byebitambuza kazambi
Ebifo ebimu ku byogerwaako kwekuli oluzzi oluli mu paaka enkadde
Minisita akola ku byobulamu ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti bamaze okukwatagana n’ab’amazzi okulaba nti bassaawo amazzi amayonjo
Opendi agamba nti abantu bangi banywa amazzi agalimu obuwuka obubaleetera obulwadde bw’omusujja gw’omu byenda
Obulwadde buno bwabalukawo ssabbiiti bbiri emabega nga bwakatta abantu 2