Ebyobulamu
Eteeka ku kondomu mu loogi lijje
Ab’obuyinza e Masaka bagaala tteeka erinaakola ku bannanyini ma loogi abatalina bupiira bugalimpitawa
Bandowooza nti loogi zino zandibadde zisasula engassi ya mitwalo kkumi nga kw’otadde n’okusibwa
Amyuka SSentebe wa disitulikiti ye Masaka,Jamil Miwanda agamba nti kino kyekyokka ekiggya okuyamba okukendeeza ku siriimu atambula nga ttabu
Miwanda agamba nti okussa obupiira guno mu malwaliro tekiyamba nnyo kubanga abantu basisinkana mu loogi
Miwanda era ayagala etteeka erikugira abawala abato okugenda mu loogi