Ebyobulamu
Etteeka ku sigala mulirinde
Gavumenti yeeyamye okuyisa eteeka erikugira abantu naddala abavubuka okufuweeta ttaaba.
Kino kibikuddwa minister w’ebyobulamu Dr. Ruhakana Rugunda ku mukolo gwokujukira olunaku lwokulwanyisa okufuweeta ttaaba munsi yonna.
Lugunda asabye ebibiina ebirwanyisa okufuweeta ttaaba okukukwanta ensonga z’eteeka lino n’obugumikiriza.
Buli nga 31 May, ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna n’ebibiina ebirala bikuza olunaku luno nebyoleka obulabe obuli mu kukozesa taaba.
Taaba atta kumpi abantu obukadde 6 buli mwaka nga ku bbo 600 000 basika omukka gwa sigala okuva kwabo ababa bamunywa.