Ebyobulamu
Etteeka ku siriimu litankanibwa
Okukubaganya ebiroowozo ku bbago ly’etteeka erikwata ku mukenenya kuzzeemu.
Kino kiddiridde alipoota okuva eri minisitule y’ebyobulamu okulaga ng’obulwadde bw amukenenya bwebweyongedde ate nga ku luno buli mu bayizi ba University abali mu bisulo.
Minista akola ku mpisa n’obuntu bulamu, Simon Lokodo agamba nti eetteeka lino lyakuyamba okutangira ku bulwadde okubuna
Abawakanya etteeka lino basimbira ekkuuli akawayiiro akaka abantu okwekebeza obulwadde bwa mukenenya
Wabula yye akulira akakiiko akakola ku nsonga za mukenenya mu palamenti, Twatwa agamba nti ebbago lino balyetegereza nga teririimu buzibu bwonna