Ebyobulamu
Etterekero ly’eddagala lya kokoolo
Minisitule y’ebyobulamu efunye kkampuni egenda okuzimba ekifo omunaterekebwa eddagala erigema kokoolo wa nabaana
Yadde gavumenti yali eyagala eddagala lino litandike okugabwa mu gw’okuna, tekyasoboka kubanga tewali waterekebwa ddagala.
Kati minisita w’obujjanjabi obusookerwaako Sarah Opendi agamba nti okuzimba etterekero lino kwakuggwa mu mwezi gw’ekkumi .
Kokoolo wa nabaana yoomu kw’oyo asinga okutta abakyala mu Uganda n’ensi yonna okutwaliza awamu.