Ebyobulamu
Eyazaalibwa n’amagulu ataano yewunyisa
Abasawo bazudde ebipya ku mwana eyazaalibwa n’amagulu ataano nga mu kiseera kino yalongoseddwa bulungi.
Okusinzira ku omukugu mu kulongossa okuva ku ddwaliro ekkulu e Mulago Doctor Nasser Kakembo, omwana yasangiddwa ng’omutiima gwe guli ku ddyo nga ne kibumba kiri ku ludda lwa kkono wabula nga kino sikyabulabe nyo gyali era nga ssi wakuddamu kulongosebwa.
Era Doctor agumizza bannayuganda nti eddwaliro lye Mulago lirina abakugu abamala okulongoosa abantu b’ekikula kino
Mu ngeri yeemu agamba okulongosa omwana ow’ekikula kino w’ebweru w’eggwanga kyanditutte ensimbi eziri wakati w’obukadde 30 ne 40.
Omwana ono yazaalibwa mu mwezi gw’okutaano omwaka guno mu bitundu bye Bugiri.