Ebyobulamu
Gavumenti ekyalemedde ku ky’okutunda omusaayi.
Bya Ben Jumbe.
Omuwandiisi wa ministry ekola ku by’obulamu Dr Diana Atwine nate azeemu okuwagira ekiteso eky’okutunda omusaaayi eri amalwaliro ag’obwananyini.
Ono okuvaayo kidiriidde abantu bangi okuwakanya ekyaasalidwawo nga bagamba nti ekyandikoleddwa kw’ekulemesa amalwaliro ag’obwananyini okutunda omusaayi, sosi kugubaguza kubanga ne ministry efuna gwa bwerere okuva mu bantu.
Dr Diana agamba nti basazeewo okukola kino kubanga n’amalwaliro g’obwananyini omusaayi gakyalemedde ku ky’okugutunda, kale nga nabo balina okubaako akasimbi kebazza eri minisitule.
Ono agambye nti eky’okulemesa amalwaliro gano okutunda omusaayi kyabeeyi, kale kwekusalawo bakikole mungeri endala nga babajako akasimbi.