Ebyobulamu
Gavumenti enanonyereza ku bbula lya Oxygen
Gavumenti esabye palamenti okugiwa obudde okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo abantu abafudde mu ddwaliro e Mulago olw’ebbula lya Oxygen
Ng’ali mu palamenti akawungeezi ka leero, minisita w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agambye nti yawuliddeko ku mawulire gano kyokka nga tannagakakasa n’asaba okutuuka olunaku lw’enkya
Omubaka Moses Kasibante y’aleese ensonga eno ng’agamba nti waliwo abalwadde mukaaga abafudde e Mulago lwa Oxygen
Rugunda agambye nti bataddewo ekibinja ky’abakugu abagenda okunonyereza
Asaasidde abafiiriddwaako abaabwe n’asuubiza nti bakufuba okulaba nti tekiddamu kulabika