Ebyobulamu
Gavumenti esitukiddemu ku mbiro e Hoima
Gavumenti etandise okusomesa abantu ku ngeri y’okutangiramu ekirwadde ky’embiro z’omusaayi ekyabaluseewo e Hoima.
Ekirwadde kino kisse abantu 6 ate ng’abawera bajjanjabibwa mu ddwaliro e Hoima
Obulwadde buno buva ku bujama era nga bukamula mangu omuntu olw’ekiddukano yenna n’aggwaamu
Minista ekola ku byobulamu, Dr Ruhakana Rugunda agamba nti obujama bwo bungi mu bantu nga n’abamu tebalina zi kabuyonjo ate abalala bbo banywa amazzi amakyaafu kal enga kyangu okufuna obulwadde
Dr agambye nti endwadde ezisinga okutawaanya abantu ziva ku bujama nga y’ensonga lwaki essira balitadde ku kusomesa bantu ku nsonga y’okukuuma mu obuyonjo