Ebyobulamu

Gavumenti malirivu okusindika abasawo ebweru

Ali Mivule

March 3rd, 2015

No comments

Doctors

Gavumenti ezzeemu okukkatiriza nga bw’eri ennetegefu okusindika abasawo mu mawanga g’ebweru.

Omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga ambasada James Mugume agambye nti balinze Lukiiko lwa ba minisita okukkiriza abasawo ba Uganda okugenda emitala wa mayanja.

Mugume agambye nti abasawo abasoba mu 750 bamaze dda okujjayo empapula nga basaba okugenda okukolera mu ggwanga lya Trinidad and Tobago yadde nga baali bagaala 230.

Mugume agambye nti abasawo bano okugenda emitala wa Mayanja tekigenda kukosa bwa bulamu mu ggwanga.