Ebyobulamu

Gavumenti yeeyamu ku be Nebbi

Ali Mivule

January 23rd, 2015

No comments

Nebbi hospital

Minisitule y’ebyobulamu alumbye abaddukanya eddwaliro lye Nebbi olw’okuzza abalwadde mu kabuyonjo kubanga baddabiriza eddwaliro

Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Asuman Lukwago agamba nti eddwaliro lino lyanditaddewo enkambi eri abalwadde abangi abagendayo okwewala okubateeka mu bifo ebikyaafu nga kabuyonjo.

Lukwago agamba nti bakutuula n’abaddukanya eddwaliro lino okulaba nti babawa wakiri ensisiira okussaamu abalwadde.