Ebyobulamu
Kaawa mulungi ku bakyala
Abakyala basobola okukendeeza ku bulabe obw’okufuna kokoolo akwata olubuto ssinga banywa ku kakaawa n’okulya obulungi.
Abakyala era basobola okukola dduyiro olwo emibiri gyaabwe negiba bulungi
Okunonyereza okukoledwa mu Bungereza kwekulabye bino era ng’abakyala bawereddwa amagezi okukozesa wakiri eddakiika 30 okwekuuma nga balamu bulungi.
Wabula ate abasawo abalala bagaba nti kino tekisaanye kwesiguza bantu kwekamirira kaawa kubanga naye bw’ayitirira taba mulungi.