Ebyobulamu
Kabuyonjo ey’okutulako kizuuse nga yabulabe
Bya Shamim Nateebwa.
Abakuggu muby’obulamu balabudde abantu abeeyunira okukozesa kabuyonjo ez’okutuulako, nga bagamba nti zino zandiba ez’obulabe ggyebali
Twogedeko ne Dr. Ambrose Nuwagaba okuva e Mulago n’agamba nti Omuntu akozeseza kabuyonjo ey’okusitamako ayanguyirwa okufulumya obubi okusinga oyo atuddeko obutuuzi , kale nga kino kikendeeza emikisa egyokufuna kookolo wekyend, amayinja mu lubuto n’ebirala.
Mu ngeri yeemu Dr Ambroze agamba Ku bakyala abali embuto, okusitama kuyamba okukendeeza ku buzito obuteekebwa ku nnabaana ng’omukyala abadde akozesa kaabuyonjo.