Ebyobulamu
Kabuyonjo za KCCA ezimu ziggaddwa
Bannakampala batandise okwekuniza ng’amafumbe olw’obutabaawo kabuyonjo
Kino kiddiridde KCCA okuggala kabuyonjo zaayo ezimu okusobola okuziddabiriza
Kabuyonjo eziggaddwa kuliko eri ku kibangirizi kya ssemateeka ne ku kkanisa ya KPC.
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba wabula asabye abantu okusigala nga bakkakkamu okutuuka nga bamaze okulongoosa
Kabuyonjo za KCCA za bwereere kyokka nga ez’obwannanyini zzo za 200 ne 300 okusinziira w’oli