Ebyobulamu
KACITA eyagala abatembeyi bave ku nguudo.
Bya Ben Jumbe.
Ekibiina ekitaba abasubuzi ekya KACITA kisabye KCCA okwanguwa okuteeka munkola ebikwekweto eby’okujja abatembeeyi ku nguudo mu kaseera kano akenaku enkulu.
Bino bigidde mukadde nga minisita wa Kampala Betty Kamya yakategeeza nga bwebaweze omutembeeyi yenna ku nguudo.
Twogedeko nakulira KACITA Everest Kayondo naagamba nti abatembeeyi bano babamazeeko emirembe, kubanga babbako abasubuzi, kyoka nga tebawa musolo nga bbo.