Ebyobulamu
Kamulali mulungi, ssi mulungi
Obadde okimanyi nti okulya kamulali kiyamba omuntu okulya emmere ewerako.
Kino kisinga kukola eri abo abatatera kumulya
Omusawo omukugu mu nsonga z’okulya, Gloria Nabasa agamba nti kamulali ono ayookya n’amasavu omuntu n’asigala nga mulamu.
Mu ngeeri yeemu kamulali ono era alimu ne Vitamin A ne B
Wabula Dr Nabasa alabudde abantu obutayitiriza Kamulali kubanga bw’ayitirira abeera wa bulabe era ng’abuza n’otulo.