Ebyobulamu
Kattikiro akubirizza Obuganda ku bulamu bwabwe
Bya Shamim Nateebwa
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abazadde okugemesanga abaana endwadde, okubaliisa obulungi, n’okubambaza engatto obutakwatibwa endwadde zi namutta.
Ono era asabye abantu ba Kabaka okufaayo ku bulamu bwabwe nga bajjumbira okwekebezanga endwadde, kubanga olugendo lw’okuzza Buganda ku ntikko lujja kubeera lwangu ng’abantu balamu.
Bino bibadde mu kulambula olusiisira lw’eby’obulamu olutegekeddwa ekitongole kya Kabaka Foundation ku Bulange.
Mu lusisira luno mwebagemedde abantu ba Ssaabasajja Kabaka obulwadde bw’ekibumba (Hepatitis B).
Yye minisita w’eby’obulamu mu bwakabaka bwa Buganda Dr. Prosperous Nankindu, u kwogera kwe yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okufaayo ennyo ku bulamu bw’abantu be.
Okugema Hepatitis B kukyagenda mu maaso mu bimuli bya Buganda buli mwezi.