Ebyobulamu
KCCA etendewaliddwa ku Typhoid
Omuwendo gw’abantu abagenda mu ddwaliro ly’omu Kisenyi n’obubonero bw’omusujja gw’omu byenda bongera kulinnya
Abasoba mu 2000 mu kadde kano beebali mu kufuna obujjanjabi ekirese abasawo nga batendewaliddwa
Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi agamba nti keekadde gavumenti ebazimbire amalwaliro amalala okukola ku bantu ng’ebibamba nga bino biguddewo
Ng’akyaddeko ku ddwlairo ly’omu Kisenyi, Musisi agambye nti abasawo batendewaliddwa kyokka ng’awakanyizza ebigambibwa nti abalwadde bagabana ebitanda
Yye atwala ebyobulamu mu KCCA David Seruka agamba nti bongedde okufuna abasawo baabwe okuva mu malwaliro gaabwe amalala okuyambako kyokka nga tekimala
Obulwadde buno bwakatta abantu babiri bukyanga bubalukawo