Ebyobulamu
Kenya eri mu bulabe bwa Ebola
Ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna kigamba nti eggwanga lya Kenya liri mu bulabe bw’okulumbibwa ekirwadde kya Ebola
Kino kiva ku nsonga eno abantu abasinga abatambula okugenda mu mawanga agali mu bugwanjuba bwa Africa bayita mu Kenya
Ekibiina kino kati kiyisizza okulabula eri amawanga ga East Africa nti ekirwadde kino kyandibatuukako akadde konna.
Abakugu mu byobulamu balwana kutangira kirwadde kya Ebola kubuna okusukka obugwanjuba gyekyakatta abantu abasoba mu 1000.
Yye omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Asuman Lukwago agamba nti bongedde abakugu ku nsalo nga bano ogwaabwe kukebera bayingira ggwanga