Ebyobulamu

Kizaala ggumba abulamu

Ali Mivule

July 23rd, 2014

No comments

Family planning

Gavumenti yeeyamye okwongera ensimbi mu kutuusa enkola za kizaala ggumba ku bantu.

Ekigendererwa kulaba nti abakyala n’abaami bongera okuganyulwa.

Kamisona akwataganya minisitule y’ebyobulamu n’abantu ba bulijjo Dr. Anthony Mbonye anyonyodde nti kino kijja kuyamba nnyo okukendeeza ne ku muwendo gw’abakyala abafiira mu sanya kko n’obwaavu okutwaliza awamu ng’abantu bazaala abaana beebasobola.

Waliwo era n’olukiiko gaggadde olutegekeddwa ssabbiiti ejja okwongera okukubaganya ebirowoozo ku nkola z’ekizaala ggumba

Omukungu okuva mu kibiina ekikola ku muwendo gw’abantu Prossy Nakanjakko agamba nti abaana abategeke kyeky’okuddamu eri abaana n’abakyala okufiira mu ssanya kko n’okutereeza embeera z’abantu