Ebyobulamu
Kkolera alumbye kasese basatu bafudde
Bya Damalie Mukhaye.
Mu district ye kasese mu kitundu kye Bwera agavaayo galaga nga ekirwadde kya kolera bwekirumbye ekitundu kino, era nga wetwogerera abantu 3 bebakafa, songa 36 bali mukufuna bujanjabi.
Twogedeko ne Dr yusuf Basega, nga ono yaakulira ebtobulamu e Kasese n’agamba nti ababiri abaasose okufa baafude amangu dala nga baakatusibwa mu dwaliro, songa omulala yafiiride mu dwaliro mwenyini.
Wabula ono ategeezeza nti bano 36 babawude kubanaabwe, era nga kati balinze buyambi okuva kampala.