Ebyobulamu
Kkolera awedde e Namayingo
Tekyali kweralikirira kirwadde kya kkolera mu disitulikiti ye Namayingo.
Ennaku 2 eziyise, teri Muntu yazzemu kukwatibwa kirwadde kino.
Akulira eby’obulamu bwabantu babulijjo mu ddwaliro ekkulu e Jinja Dr. Attai Emorot agamba nti enkambi zebatekawo okukumiramu abalwadde b’ekirwadde kino kiyambye nyo okutangira ekirwadde kino okusasanira mu bitundu ebirala.
Agamba minisitule y’ebyobulamu yasindise dda abantu baayo era singa wabawo omutawaana gwonna bakugwanganga.