Ebyobulamu
Kokoolo alina akakwate ku bitundu
Eddwaliro lya kokoolo mu Uganda limenye ebika bya kokoolo n’engeri gy’akosaamu ebitundu ebitali bimu
Bano batunuulidde kokoolo ow’’omu lubuto, ow’ekibumba n’owa mayuuga ng’ono asinga kukwata baana
Omusawo omukugu okuva mu ddwaliro lya kokoolo Dr. Fred Okuku agamba nti abadde ababeera mu bitundu bya WestNile bafuna nnyo kokoolo w’ekibumba kubanga era bano batawanyizibwa obulwadde bwa Hepatitis E
Dr. Okuku agamba nti bbo ababeera mu bugwanjuba bbo batera nnyo okufuna kokoolo w’olubuto
Ono agamba nti bano balya nnyo enyama n’amata amabisi nga kikireeta ebizibu
Dr Okuku agamba nti era bakizudde nti ate bwegutuuka mu bitundu bye Kamuli, Kumi ne Mayuge, abaayo balumwa nnyo kokoolo w’amambulugga oba oyo akwata mu mba
Ono asabye abantu bulijjo okwewala endwadde ya kokoolo nga beekebeza okumanya nga bukyaali
Obubaka buno buzze nga Uganda yeetekateeka okukuza olunaku lwa kokoolo ku lw’okusatu lwa ssabbiiti ejja