Ebyobulamu
Kokoolo oluusi kisiraani
Bannasayansi bagamba nti omuntu okukwatibwa kokoolo kiba kisiraani.
Ekibinja kya bano okuva mu America kigamba okunonyereza kwekikoze kulaga nti waliwo abantu bangi abalina kokoolo naye nga baakola buli kimu okumwewala omuli n’obutakomba ku ka sigala
Bano bakizudde nti kumpi ebitundu 2 ku bisatu ebya kokoolo asinga okuluma abantu, tava ku kumala galya oba kugayaala wabula kijja buzzi era nga bbo bakiyise kisiraani.
Wabula ate okunonyereza okuzze kukolebwa kulaga nti kokoolo esinga okuba ow’obulabe aleetebwa mbeera za bantu ez’okulya ebitaliimu biriisa oba abiyitiridde amasavu