Ebyobulamu
Kokoolo omupya azuuliddwa mu basajja
Bannasayansi bazudde ebika ebipya bitaano ebya kokoolo akwata abasajja.
Bano bekebezze abasajja 250 okuzuula bino era ebika byonna kibadde kiraga nti bisikire busikizi.
Abasawo bagamba nti kati kijja kubayamba okumanya ebika bya kokoolo gwebalwanyisa n’eddagala ettuufu ery’okukozesa
Wabula bannasayansi bano okuva mu Bungereza bagamba nti bakwongera okunonyereza nga batunuulira abantu abalala okulaba oba ddala byebazudde byebituufu.