Ebyobulamu
Kokoolo w’emba mu baana
Kokoolo afubutukira mu mba yeeyakasinga okuluma abaana.
Ebituntu 60 ku bantu abatwaliddwa ku ddwaliro lya kokoolo e Mulago baali baana.
Ku baana bano 10 mukaaga balina kokoolo ono ow’omumba Omusawo ajjanjaba abaana, Dr Allen Namaala agamba nti obuzibu bwebasinze okusanga nti abazadde abaana babaleeta baweddeyo era batono abawona
Kokoolo ono atandika okulabika ng’omuntu azimba emba n’obulago era ng’oluusi atuukira ddala mu nkwaawa
Oluba oluba luzimbye teruluma kyokka nga lukula ku misinde gya yiriyiri
Kookolo ono atandikira mu lubuto ng’asinga kukosa amaggi g’abakyala, obusajja, obwongo n’okumala amazzi ku mugongo.