Ebyobulamu
Kokoolo w’obusajja
Abasawo bakizudde nti omusajja asobola okuwangaala ne kokoolo w’obusajja okutuuka ku myaaka 10 .
Kokoolo ono kyeyolese nti ajja anafuwa okwawukanako nebwegwaali emyaka ena mabega
Kookolo ono mu mwaka gye 70 yali mukambwe nnyo era nga ku bantu 100 bakwata, 67 bafa mu bwangu.
Abasawo bagamba kati bagenda kuyiiyamu ngeri yakwongera kunafuyamau kookolo ono okuwa abantu abamulina akadde okwejjanjabisa bongere okuwangaala
Abakugu bagamba nti kino bagenda kukikola nga bakyuusa mu ddagala lyebagaba n’okunyikiza lyebabadde bakozesa
Kokoolo w’abasajja ajja yeeyongera buli lukya era ng’asinga kweyoleka ssinga omusajja azimba obusajja
Abasajja bulijjo baweebwa amagezi okukebera ebitundu byaabwe buli kaseera okukakasa nti balamu bulungi