Ebyobulamu
Kyadaaki aadi y’abaana e Mulago efunye amazzi
Kyadaaki waadi y’abaana eya Mwana mugimu mu ddwaliro ekkulu e Mulago efunye ku mazzi oluvanyuma lwembiro okubalukawo mu baana abajirimu.
Omu ku basawo mu waadi eno Hanifa Namusoke ategezezza nti kati bali ku ssuubi embeera yanditerera olw’ekimmotoka kya mazzi okuletebwa .
Kino wekijidde nga minister w’ebyobulamu yakalambula eddwaliro lino olunaku olwaleero era nasuubiza nga gavumenti bwekola ekisoboka okutaakiriza embeera. Bbo bamaama b’abaana abali mu waadi eno bafunye akaseko ku matama.