Ebyobulamu

Lokodo awakanya okukozesa kondomu

Ali Mivule

May 4th, 2015

No comments

Condom day distributor 2

Minisita akola ku mpis an’obuntu bulamu Fr. Simon Lokodo takkiririza mu nkola ya kukozesa bupiira bugalimpitawa ng’agamba nti buno bwongera bwenzi.

Ebigambo bya minisita bikontana n’enteekateeka ya gavumenti etumbula okukozesa obupiira.

Ono abadde ayogerako eri ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku bya mukenenya okuva mu Tanzania nga bano babadde bakyaddeko ku kakiiko akakola ku nsonga za Mukenenya eka Uganda Aids Commission

Ababaka bano bali wano ku bugenyi bwa nnaku sstu nga bakubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okulwanyisaamu mukenenya

Mu bakkiriziganyizza ne minisita mwemuli akulembeddemu ekibiina kya Reach a hand Uganda Humphrey Namibanya agambye nti obupiira bulina kukozesebwa ng’ekisembayo