Ebyobulamu
Lunaku lwa bakyala abali mu nsonga
Uganda olunaku lwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’abakyala abali mu nsonga.
Olunaku luno lwassibwawo ekibiina ky’amawanga amagatte okutunuulira ebizibu abakyala byebayitamu nga bali mu nsonga omuli okuboolebwa kko n’ekizibu ky’okugula ebisabika ziyita paadi
Mu Uganda abaana abawala bangi tebasoma buli lwebaba mu nsonga olw’okuboolebwa kwebafuna okuva eri abalenzi ate nga mu mawanga agamu, omukyala ali mu nsonga ayawulwa ku balala okutuuka lw’azivaamu