Ebyobulamu
Lunaku lwa bya bulamu bwa bakyala
Gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu kumanya ebiruma abavubuka mu byobulamu.
Okusaba kukoleddwa akabondo k’ababaka abasawo ne ba minista mu kabonga Uganda yegatta ku nsi yona okukuza olunaku lw’okukandula amaloboozo ku by’enzaala y’abakyala
Akulira akabondo kano, Sylivia Namabidde agamba nti Uganda esingamu bavubuka kyokka nga ebyobulamu byaabwe naddala abawala tebissiddwaako mulaka
Namabidde agamba nti kino kivuddeko abaana abawala okufuna embuto nga bato nebajjamu ebirwadde byebatamanyi
Yyo ministry y’ebyobulamu egamba nti ku bakyala ekikumi abafa, ebitundu 20 ku kikumi baba bawala abatannaba kwetuuka
Minisita omubeezi akola ku byobulamu ebisookerwaako, Sarah Opendi agamba nti abawala abakunukkiriza mu mitwalo 30 beebajjamue mbuto zebafuna nga tebeyagalidde era ng’abamu bafiira mu kikolwa kino
Kino akitadde ku bawala bano obutamanya kyakukola.
Minista wabula agamba nti bataddewo ekiwayi kiramba ekigenda okukola ku nsonag z’abavubuka
Yye omubaka w’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku by’emiwendo gy’abantu Esperence Fundira agamba nti abaana abato abafuna embuto bafuan ebizibu bingi omuli n’okukulukuta okutuusa lwebafa
Kino kiva ku magumba amanafu agakosebwa nga bazaala
Ate bbo abali mu kawefube w’okulongoosa ebyobulamu mu ggwanga balabudde nti eggwanga lyandilemererwa okutuukiriza ebigendererwa by’ekyasa mu by’okuzaala kw’abakyala
Ab’ekibiina kya Save the children Uganda bagamba nti gavumentie kyalemereddwa okussa ensimbi mu basawo nga bangi badduka nebanoonya ensimbi zsingako mu mawanga amalala.
Omukungu mu kibiina kino Hilda Karamagi agamb anti kituufu wabaddewo okukendeera mu baana abafa nga tebannaweza myaka etaano kyokka nga bbo abakyala abafa nga bazaala bakyaali bangi
Ono ayagala gavumentie yongera ensimbi mu byobulamu okuknedeeza ekizibu kino
Abakyala 16 beebafa buli lunaku nga bazaala mu ggwanga
Uganda ekya lweyegatta ku nsi yonna okukuza olunaku eri okukomya abakyala abafiira mu sanya