Ebyobulamu
Lunaku lwa byabulamu mu nsi yonna
Leero lunaku lwa byabulamu mu nsi yonna.
Olunaku luno lukuzibwa buli nga 7 omwezi gw’okuna okujjukira olunaku ekibiina ky’ensi yonna lwekyatandikibwaawo mu mwaka gwa 1948
Buli mwaka gubeera n’omulamwa naye nga ku luno gwassiddwa ku ndwadde eziva ku biwuka ebaba birumye omuntu
Obulwadde buno businga mu Uganda era nga obwakasinga okutta abantu musujja gwa nsiri
Mu mwaka 2010, abantu emitwaalo 66 beebafa obusujja bw’ensiri nga bano abasinga baali baana okuva ku ssemazinga wa Africa.
Mu Uganda, gavumenti yatandikawo kawefube w’okugaba obutimba bw’ensiri okulaba ntu baguziyiza naye ng’ekyewunyisa nti bangi babukolamu byebagaala
Minisita w’ebyobulamu Dr Ruhakana Rugunda agamba nti bakusigala nga basomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu omusujja gw’ensiri mu kifo ky’okugujjanja kubanga nga bulijjo okuziyiza kusinga okuwonya.