Ebyobulamu

Lunaku lwa Kokoolo- bangi bali mu bulabe

Ali Mivule

February 4th, 2014

No comments

cancer

Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lwa kokoolo.

Ab’ekibiina ky’ensi yonna ekikola ku byobulamu bagala wabeewo okukoma ku bantu abanywa sigala n’omwenge.

Ekibiina kino kigamba nti omuwendo gw’abantu abalina gwakweyongera okutuuka ku bukadde 24 ssinga kino tekikolebwa

Ekibiina kino kigamba nti waliwo era obwetaavu obukoma ku banywa sigala n’abagejja ennyo olw’okunywa omwenge.

Bbo ab’ekibiina ky’ensi yonna ekinonyereza ku bulwadde bwa kokoolo bagamba nti kokoolo alina akakwate ka maanyi ku biki abantu byebalya

Abantu obukadde 14 beebafuna obulwadde buno buli mwaka mu nsi yonna ate nga  2035 wegunatuukira nga bali obukadde 24.

Nga bulijjo abantu okuva mu mawanga agakyakula beebasinga okuba mu bulabe bw’okufuna obulwadde buno.

Okuddako wano mu Uganda, kokoolo wa nabaana yeeyakasinga okuba ow’obulabe ng’abakyala abasoba mu 2,400 beebabafa kokoolo ono buli mwaka

Bbo abasoba mu nkumi essatu mu ebitaano bebajjanjabwa obulwadde buno.

Abakugu mu byobulamu basabye abantu okufaayo ennyo okwekebeza kokoolo okutegeera nga bukyali kubanga asinga obungi awona.