Ebyobulamu
Lunaku lwa Kondomu
Olwaleero lunaku lwa bupiira bukali mpitawo mu nsi yonna.
Mu Uganda olunaku lukozeseddwa okwongera okubangula abantu ku ngeri y’okukozesaamu obupiira ate nga mu bitundu ebitali bimu obupiira bugabiddwa
Ab’ekibiina kya AIDS HealthCare Foundation nga bayita mu Uganda Cares bayimiridde ku nkulungo z’omu kibuga omuli wandegeya, ku bbiri, Mulago jjinja road ne Katwe ng’abantu bafunye obupiira bwa bwereere.
Akulira ekibiina kino Alice Kayongo agamba nti wakyaliwo obwetaavu bw’obupiira mu malwaliro olutalo ku mukenenya bweruba lunavaamu ebibala