Ebyobulamu
Lunaku lwa mazzi- okumalawo obukyafu kyetaagisa mazzi
Ngensi yonna ngeri mukukuza olunaku lwe bya mazzi, aba Wakiso district, olutalo balutadde ku bukyafu bwebagambye nti buyitiridde era nga bwebusinga okuvaako endwadde ezikyasinga okutta abantu mu district.
Bino byogeddwa Ssentebe wa district eno, Matia Lwanga Bwanika, bwabadde aggalawo omusomo ogubadde ku kitebe kya district ogwolunaku olumu ku byamazzi, n’agamba nti nga ensi yonna etunuulira amazzi amayonjo nti naye ate ky’amanyi obukyafu bukoze kinene nnyo kukubonyabonya obulamu bw’abantu nasaba district eddimu eriteeke ku kulwanyisa obukyafu n’okufuna zikabuyongo bulimaka.
Ngayogera ku byamazzi, Ssentebe Bwanika agambye nti ngayadde Wakiso erabika nga ezimu ku district eziri obulungi ku byamazzi amayonjo, naye yye akakasa nga balibubi kubanga ebitundu 65 ku 100.